Luganda
Surah Al-Qari'ah ( The Striking Hour ) - Aya count 11
ٱلْقَارِعَةُ ﴿١﴾
1. Ekikoona (ekyentiisa).
وَمَآ أَدْرَىٰكَ مَا ٱلْقَارِعَةُ ﴿٣﴾
3. Naye omanyi ekikoona kye ki?
يَوْمَ يَكُونُ ٱلنَّاسُ كَٱلْفَرَاشِ ٱلْمَبْثُوثِ ﴿٤﴾
4. Lwe lunaku abantu lwe balibeera nga e biwojjolo ebisaasaanye.
وَتَكُونُ ٱلْجِبَالُ كَٱلْعِهْنِ ٱلْمَنفُوشِ ﴿٥﴾
5. N’ensozi lwe zirifuuka nga pamba omusuunsule afuumuuka.
فَأَمَّا مَن ثَقُلَتْ مَوَٰزِينُهُۥ ﴿٦﴾
6. Naye, omuntu alibeera n'emirimu e mirungi nga gizitowa (okusinga ebibibye).
فَهُوَ فِى عِيشَةٍۢ رَّاضِيَةٍۢ ﴿٧﴾
7. Oyo agenda kubeera mu bulamu obw’okwesiima.
وَأَمَّا مَنْ خَفَّتْ مَوَٰزِينُهُۥ ﴿٨﴾
8. Ate oyo aliwewukirwa emirimu gye emirungi (ebibi bye n’ebisinga obuzito).
فَأُمُّهُۥ هَاوِيَةٌۭ ﴿٩﴾
9. Oyo nno, obuddo n'obutuulo bwe muliro oguyitibwa “Haawiya”.
وَمَآ أَدْرَىٰكَ مَا هِيَهْ ﴿١٠﴾
10 Naye omanyi ‘Haawiya’ kye ki?
نَارٌ حَامِيَةٌۢ ﴿١١﴾
11. Gwe muliro ogwengeredde (ogwokya ennyo).